Abeepisikoopi ba Eklezia Katulika mu Uganda bafulumizza ekiwandiiko kya miko 39 mwebalambikidde ensonga 14 zebaalabye nga zeetaaga abakkiriza, government ne banna Uganda bonna okutwalira awamu okuzikolako mu bwangu.
Ekiwandiiko eky’engeri eno kya mulundi gwa 27 okuva Abeepisikoopi lwebaatandika okufulumya obubaka obwawamu, bwebalowooza nti nga bugobereddwa eggwanga lyaffe Uganda liyinza okutebenkera.
Ekyasooka kyafulumizibwa mu mwaka gwa 1962!
Mu kiwandiiko ekisomeddwa Ssentebe w’Olukiiko lw’Abeepisikoopi era Omusumba w’essaza lya Kiyinda Mityana Rt Rev Dr. Joseph Anthony Zziwa ku kitebe kya Eklezia mu Uganda e Nsambya, agambye nti ssinga ensonga ezinokoddwayo zikolwako emirembe mu ggwanga gijja kubukalamu.
Okugabana eby’obugagga by’eggwanga, balaze okutya nti ensonga eno ejjudde obusosoze, olwo abamu nebagaggawala nnyo ate abalala nebasigala kweyaguza luggyo.
Obusosoze mu mawanga, bategeezezza nti omuze guno gukula buli lunaku nga naabamu beewaana nti basinga abalala, olwo nekireetera ababoolebwa okwetya n’okulemererwa okwetaayiza mu ggwanga lyabwe.
Obuli bw’enguzi, obukenuzi n’obulyake, Abeepisikoopi bategeezezza nti ono ye kookolo akyagaanye okufunirwa eddagala mu ggwanga Ugand.
Bagamba nti bangi abakwatibwa mu bulyi bwenguzi era emisango nrbagivvuunuka na nguzi, nga weetaaga amaanyi ag’enjawulo ku kino olwo eggwanga lifunemu omuganyulo naddala mu nkozesa y’ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Abaana abafa nga mabujje n’abakyala abafiira mu ssanya, Abasumba baagala ensonga eno etunuulirwe mu ngeri ey’enjawulo nga government eteeka eddagala mu malwaliro n’okusasula obulungi abasawo kitaase eggwanga ery’enkya.
Eby’obulamu ebirala byonna, bategeezezza nti banna Uganda bangi babonaabona okufuna obuweereza bw’obujanjabi obutuufu era obusaanidde, olwa government okwesuulirayo ogwannaggamba olwo banna Uganda nebafa nga tebatuuse.
Bishop Zziwa mu ngeri yeemu ayogedde ku nsonga y’okutereezaamu eby’okulonda, bannansi baweebwe omukisa okulonda nga tebali ku bunkenke, ekiwamba bantu n’okutulugunya abantu mu biseera by’okunoonya akalulu n’okulonda, era bisaana bikolweko naddala ng’eggwanga ly’olekera okulonda kwabonna okwa 2026.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K