Banna kibiina kya NUP akalulu ke Kawempe bakanyumya nga lutabaalo olw’ebikolobero ebyabatuusibwaako, era ng’abasoba mu 30 bajjidde ku miggo tebakyasobola kwewanirira.
Mu lukuηaana lwabanna mawulire olutuuzidwa ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule abantu abasuka 30 bazze ku kitebe ky’ekibiina nga batambulira ku miggo olw’akibooko ezabakubwa mu kalulu ako, n’abamu nebamenyebwa amagulu.
Abamu ku bavubuka abakubwanga emiggo mu mmotoka za drone nebaatwalibwa nga bakwatiddwa e Kawempe, bategezeza nti obukambwe bwebabakolako bwali bw’amaanyi.
Mubaaddemu ne meeya wa Kyengera Mathias Walukagga n’omubaka wa Bukomansimbi North Kayemba Solo, bategezezza nti akalulu ke kawempe tekabadde kalulu lwabadde lutalo lwennyini.
Bagamba nti embeera eno eyolekedde okumalamu abantu abaanyi babeere nga tebetaba mu kalulu.
Omubaka omulonde owe Kawempe North Luyimbaazi Nalukoola awanjagaidde akakiiko k’ebyokulonda kagobe emmotooka ennwanyi eza Mamba saako amagye mu Kalulu ka Uganda.
Banna kibiina kya NUP bawanjagidde akakiiko ke Byokulonda kakole nga bwekasobola kedize obuyinza bw’okulonda mu ggwanga.
Nalukoola agambye nti bukyanga abaawo talabangako kalulu,kaalimu magye agenkanidde awo nga bwegwabadde e Kawempe, saako okukuba bannamawulire obwenkanidde awo, nga kwotadde n’okutyoboola eddembe ly’obuntu.
Ye akulira oludda oluvuganya government oel Ssenyonyi awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe n’abakulu mu government abavumirira ebyaali e Kawempe bakirize wabeewo okunoonyereze kubaakola ebikolobero ku bantu.
President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu abagumizza n’abasaba obutagwamu ssuubi n’okwongera okubumirira ebikolwa ebirinnyirira eddembe ly’obuntu.
Asabye n’omubaka omulonde Nalukoola nti bamumanyi nti ye muntu omutuufu eyabadde alina okuweebwa akalala, era nti tagezaako okuyiwa obwesige bannakawempe bwebamulinamu.#