Omukulembeze w’eggwanga era ssentebe w’ekibiina ki NRM Gen Yoweri Kaguta Museveni ssimumativu n’ebyavudde mukalulu k’e Kawempe North, ensonda zitutegeezezza nti alagidde ekibiina ensonga okuzitwala mu kkooti.
Akakiiko k’ebyokulonda kaalangiridde munna NUP Erias Luyimbaazi Nalukoola nti yemuwangudde n’obululu 17,764, yaddiriddwa munna NRM Faridah Nambi Kigongo eyabuuseewo n’obululu 8,593 n’abalala nebagoberera.
Munsisinkano n’ababaka banna NRM ebadde mu maka gw’obwa pulezidenti Entebe, ensonda zitutegeezezza nti pulezidenti abadde mukaawu era n’alaga obutali bumativu n’ebyalangiriddwa.
Okusinziira ku nnampala wa government Denis Hamson Obua bwabuziddwa okukaatiriza ku nsonga eno, ategeezezza nti eggwanga lirindirire NRM byekigenda okulangirira ku kyezaako.
Wabula Ibua atutegeezezza nti ebikanyiziddwako munsisinkano kwekuli okuwagira eky’okutwala eggye ly’eggwanga erya UPDF mu South Sudan okubugiriza emirembe, era ekiteeso bwekireetebwa mu parliament, pulezidenti abalagidde bakiwagire awatali kusikattira.
Bino webituukiddewo nga amagye gasindikiddwa dda mu South Sudan era, government ya Uganda kyegenda okukola kwekutegeezaako parliament ku kyakoleddwa.
Embeera yeemu yeyaliwo amagye bwegaali gatwalibwa mu Democratic Republic of Congo.#