Kooti enkulu mu Kampala ezeemu kusindika col Kizza Besigye ne mune Hajji Obed Lutale munkomyo okutuusa nga 11 April,2025, oludda oluwaabi lutegeezezza nti lukyetegereza ebikwata ku bantu abassibwayo mu kooti okubeyimirira.
Banna mateeka ba Col Kizza Besigye nga bakulembedwamu Ssalongo Erias Lukwago baali baasaba kooti ekkirize abantu babwe beyimirirwe, era nti ebikwata ku balina okubeeyiirira byawebwayo nga 27 February,2025.
Wabula oludda oluwaabi lutegeezezza nti terunnamaliriza kuzeetegereza.
Dr.Kiiza Besigye avunaanibwa ne munne Hajji Obeid Kamulegeya, abaggulwako ogw’okulya munsi olukwe n’okusekeeterera government ku bigambibwa nti baasangibwa n’emmundu e Nairobi mu Kenya, saako okutuuka enkiiko ezaali zigenderera okumaamulako government ya Uganda, nga bazituuza mu Kenya, Switzerland ne Greece.