Akakiiko k’ebyokulonda mu Uganda kalangiridde Elias Luyimbaazi Nalukoola eyajidde ku kaadi ya NUP ku buwanguzi, bw’akalulu ak’okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North.
Nalukoola azze mu bigere bya Muhammad Sseggiriinya eyava mu bulamu bw’ensi eno ku ntandikwa ya January,2025.
Elias Luyimbaazi Nalukoola awangudde n’obululu 17,764 naddirirwa owa NRM bwebabadde ku mbiranye Nambi Faridah Kigongo afunye 8,593.
Akuliddemu okulonda kuno Makabayi Henry alangiridde ebivudde mu kulonda ku ssaawa mukaaga n’eddakiika 35 mu kiro ekikeesezza olwa nga 14 March,2025.
Abantu 10 bebavuganyizza mu kulonda kuno.
Akalulu kano ketobeseemu ebikolwa eby’okutulugunya abantu, abebyokwerinda mwebakubidde abantu emiggo naddala bannamawulire era ng’abasoba mu 15 balumiziddwa nnyo saako okwonoona ebikozesebwa byabwe.
Abalonzi abewandiis okukuba akalulu bali 199,341, bwogerageranya naabo 164,052 abaalonda mu kalulu akaaliwo mu 2021, wabula obunkenke obwetobese mu kalulu k’okuddamu okulonda abantu abasiinga obungi bagamba kwabalemesezza okulonda.
Okulonda kubadde mu miruka 9, ebyalo 47, n’ebifo ebirondebwamu 197, wabula okusinziira ku bwabaliddwa, ebifo ebironderwamu ebiwera 15 tebwabaliddwa olw’obusaambattuko obwaluseewo ng’okulonda kuwedde, era obululu obumu tebwatwaliddwa mu kifo ewaabadde wabalibwa obululu obwawamu ku Makerere University.
Obululu bwokka bwebwabaliddwawo 28,002, nga n’obwafudde obubaliddeko.