Obwakabaka bwa Buganda butongozza empaka z’amasomero ga senior ne primary season ya 2025 n’omulanga eri abazadde, abayizi nabakulira amasomero gonna agali mu Buganda okujjumbira empaka zino.
Ekigendererwa ky’empaka zino kwekwongera okusitula ebitone bya bayizi abyenjawulo.
Empaka zino zitongozeddwa minister w’abavubuka ebyemizannyo n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, ku ssomero lya Kawanda SS eritegese empaka z’omwaka guno era ogw’okubiri ogw’omuddiringanwa.
Ku lw’ekibiina ekiddukanya emizannyo gya masomero ga senior mu Uganda ekya Uganda Secondary Schools Sports Association, Hajji Twahiri Katumba Kitezaala, akinoganyiza nti bagenda kukolagana ne Buganda buterevu okusitula omutindo gw’empaka zino.

Emizannyo gyatandise lunaku lw’eggulo nga 12 March,2025, era abayizi bavuganya mu mizannyo 5 okuli omupiira ogw’ebigere, okubaka, Volleyball, Basketball ne Handball.
Empaka zino zijja kukomekerezebwa ku Sunday eno nga 16 March,2025.
Uganda Martyrs High School Lubaga be baawangula ekikopo ky’omupiira mu mpaka zino omwaka oguwedde.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe