Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’ensero ey’abakazi eya The Gazelles, Jane Asinde, yegasse ku club ya Duran Maquinaria Ensino egucangira mu liigi ya babinywera munsi eya Spain.
Jane Asinde okugenda e Spain, kigidde mu kiseera nga yakamala okuyambako Uganda okuwangula empaka za FIBA Women’s Afro Basketball Zone V Qualifiers ezabadde e Misiri.
Asinde ng’era abadde muzannyi wa club ya JKL Lady Dolphins, yalondeddwa nga omuzannyi eyasinze banne okwolesa omutindo mu mpaka ezabadde e Misiri.
Uganda Gazelles okuwangula empaka za FIBA Women’s Afro Basketball Zone V Qualifiers yakubye abategesi aba Misiri obugoba 74 ku 63, era captain Jane Asinde, yatebyeko obugoba 19.
Uganda Gazelles kati yakiise mu mpaka za Africa ezakamalirizo eza FIBA Women’s Afro Basket Championships omulundi ogw’okuuna, nga yasooka kukiika mu 1997, 2015 ne 2023.
Empaka zino zijja kuberawo okuva nga 27 July, okutuuka nga 03 August,2025 mu kibuga Abidjan ekya Ivory Coast.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe