Banna kibiina Kya FDC oludda lwe Katonga bakedde ku komera e Luzira okulambula ku Rtd.Col.Dr.Kiiza Besigye n’okumutwalira ebyokukozesa ku ssekukulu.
Besigye Ssekukulu y’omwaka guno wakujiliira mu nkomyo ne munne Haji Obed Lutale nga bano babakwatira mu Kenya nebakomezebwaawo mu Uganda, nebasomerwa emisongo gyokusangibwa ne mmundu n’okugezaako okutabangula emirembe mu Uganda.
Banna banna kibiina Kya FDC Abe katonga babitademu engato nebolekera ekomera lye Luzira okulaba embeera omuntu wabwe gyalimu.
Ssabawandiisi wa FDC e Katonga Harold Kaija agambye nti tebasobola kulya lunaku lukulu nga Bali mu sanyu ate ng’omuntu abazimbye mu by’obufuzi ye ali mu nkomyo.
Besigye yakwatibwa nga 16 November,2024, yali agenze ku mukolo ogwokutongoza akatabo ka munnamateeka Martha Karua, era ono yagya mu ggwanga awolereze Besigye naye nammibwa empapula ezimukkiriza okuwoleza mu Uganda emisango .
Baakudda mu kooti nga 07 January,2025.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif