Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF, kikkirizza Uganda ne Burundi okukozesa ekisaawe kye Nakivubo okuzannyiramu emipiira 2 egy’empaka ez’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu mpaka za CHAN ez’omwaka ogujja 2025.
Burundi y’egenda okusooka okukyaza Uganda mu kisaawe kye Nakivubo nga 26 December,2024, n’oluvanyuma Uganda ekyaze Burundi mu kisaawe kye kimu nga 29 omwezi guno.
CAF yalonda Uganda, Kenya ne Tanzania okutegeka empaka za CHAN ezakamalirizo ezinaabeerawo okuva nga 01 okutuuka nga 28 February, 2025.
Wadde Uganda egenda kuzannya ne Burundi ku mutendera ogw’okusunsulamu, Uganda yayitawo dda ng’abategesi, kyokka Burundi n’abalala balwanira ekifo kimu ekikyasigaddewo eri ttiimu eziva mu kitundu kino ekya Cecafa.
CAF era eragidde nti omupiira gwa Uganda ne Burundi nga guzannyibwa mu kisaawe e Nakivubo, abawagizi tebatekeddwa kusuka 7000.
Senegal be bannantamegwa b’empaka ezasembayo eza Chan, era empaka zino zetabwamu abazannyi bokka abazannyira mu mawanga gabwe.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe