Retired Colonel Dr. Kiiza Besigye eyakwatibwa ne munne Haj Obeid Lutale Kenya bakalambidde nti wakiri okufiira mu kkomera, okutuusa nga munnamateeka wabwe okuva e Kenya Martha Karua aweereddwa ebbaluwa emukkiriza okubawolereza.
Dr Kiiza Besigye ne Haj Obeid Lutale bavunaanibwa emisango omuli okusangibwa n’emmundu n’okutuuza enkiiko ezigenderera okusekeeterera government ya Uganda, wabula emisango gyona ababiri bano bagyegaanye.
Bannamateeka 41 ababadde bakkiriziddwa okuyingira kooti okubawolereza nabo beremye okugenda mu maaso n’omusango, olwa Martha Karua abadde alina okukulemberamu omusango, okuba nti Uganda Law Council ekyeremye okumuwa ebbaluwa ey’ekiseera emukkiriza okukolera mu.Uganda.
Ssentebe wa kooti y’amagye etuula e Makindye Freeman Mugabe ebalagidde baddeyo ku alimanda okutuusa nga 07 January, 2025 lwebanazzibwa mu kooti.
Obunkenke bubadde bw’amaanyi ku kkooti y’amagye era bangi tebaasobodde kuyingira munda, ate abakkiriziddwa okuyingira bagaaniddwa okugenda n’essimu, nga ne bannamawulire ababadde n’essimu ebbiri bakiriziddwako emu yokka.#