Ekibiina kya Forum For Democratic Change oludda lwe Najjanankumbi kitabukidde oludda oluvuganya government olw’okubasibir ebweru, bwebaasisinkanye okutema empenda z’okununula Rtd.Col. Dr. Kizza Besigye Kifeefe.
FDC egamba nti ekyakoleddwa kikolwa ekiraga nti FDC oludda lwe Najjanankumbi balinga abagezaako okuluggya mu by’obufuzi by’e ggwanga kyebatagenda kukkiriza.
Omukulembeze wa FDC Eng Patrick Amuriat Oboi avumiridde oludda oluvuganya government okusibira ekibiina kyabwe ebweru, kyokka ate mu kuwandiika ebibiina ebyabaddewo, Erias Lukwago naateerako FDC omukono kyagambye nti kikyamu.
Robert Centinary omu kubakulembeze ba FDC e Najanankumbi alabudde ebibiina ebivuganya government bive mu lutalo lwa Katonga ne Najjanakumbi, bamanye nti kyebaatandise eky’okusosola ebibiina tebasaanye kwongera kukikumamu muliro.
Centinery agambye nti omuntu akola ebyo ye ssalongo Erias Lukwago okubavumaganya buli wantu.
Wabula Ssalongo Erias Lukwago mu kwanukula agambye nti abe Najjanakumbi tebakyalina kyebagatta ku ludda luvuganya nti kuba bakolera government ya NRM, nga yensonga tebaayitiddwa mu lukungaana olulimu ensonga ez’enkizzo
FDC ,Jeema ne Dp byebimu ku bibiina ebitaayitiddwa mu lukungaana lw’ebibiina ebivuganya government olwabadde ku parliament ya Uganda, nga lwakubiriziddwa akulira oludda oluvuganya mu parliament Joel Ssenyonyi.
Bisakiddwa: Lukenge sharif