Omukulembeze w’eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni alangiridde nti government egenda kusaawo enteekateeka eyenkalakkalira egenda okugonjoola ebizibu ebisumbuye aba Karamonja n’ebitundu ebiriranyeewo okumala ebbanga.
Museveni agamba nti kyagenda okusokeerako kwekutereeza amazzi mu bitundu bino, okutaasa abantu ne bisolo byabwe abatambula engendo empavu nga banoonya amazzi ekiretawo obutali butebenkevu omuli n’okubba ente zabwe.
Muzeei Museveni ategezeza nti ebyobulimi ebivaamu ensimbi bwebisibwako amaanyi bisobolera ddala okukyusa aba Karamoja okuva mu lumbulege lw’obwavu.
President bino abyogeredde mu district ye Moroto bw’abadde mu nsisinkano n’abakulembeze okuva mu bitundu bye Karamona mu nteekateeka ze zalimu ez’okulambula enkola ya government engeri gyezikozemu omuli eya PDM, Emyooga ne nddala.
President Museveni era asuubiza okukwasizako abayizi abasoma science mu bitundu bya Karamoja okulaba nga bamalako emisomo gyabwe, nga tebafunye kutaataganyizibwa.
Omukulembeze w’eggwanga abakulembeze bano abasabye okubunyisa enjiri y’enkulaakulana mu bantu babwe n’okwettanira enkola zonna government zeereeta basobole okukyusa obulamu.
Agambye nti Karamoja n’ebitundu ebiriranyeewo balina eby’obulambuzi bingi n’abasaba okubikozesa okutumbula ebitundu byabwe nga ne government bwebakwasizaako.
Mu ensisinkano eno omukwanaganya w’enkola ya PDM Denis Ssozi Galabuzi abuulidde president nti ku nsiimbi obuwumbi 98 obwasindikibwa mu Karamoja okulakulanya abantu, obuwumbi 85 bugabiddwa sso nga 13.6 nabwo bateekateeka okubugabira abantu.#