Ekibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA, kironze omuteebi munnauganda Dennis Omedi, okuvuganya ku ngule y’omuzannyi esinze okuteeba goolo ennungi omwaka guno 2024.
Engule eno eyitibwa Puskas Award, era Dennis Omedi avuganya n’abazannyi abalala 10.
Dennis Omedi nga muzannyi wa club ya Kitara eya Uganda Premier League, goolo emuletedde okuvuganya kungule eno yagiteeba club ya KCCA mu kisaawe e Lugogo mu mpaka za FUFA Super 8.
Okulonda goolo esinze kutandise olwaleero era kujja okukomekerezebwa nga 10 December,2024.
Dennis Omedi afuuse munnauganda asoose okuvuganya ku ngule eno.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe