Ekibiina ekiddukanya omupiira mu bitundu eby’obuvanjuba namasekata ga Africa ekya CECAFA nga bakolaganira wamu n’ekibiina ekiddukanya omupiira ekya FUFA, bakakasiza ebisaawe 2 ebigenda okuzannyibwamu emipiira egy’okusunsulamu amawanga aganakiika mu Africa Cup of Nations U17 eziribeerawo omwaka ogujja 2025.
Uganda yalondebwa okutegeka empaka ez’okusunsulamu mu kitundu kino ekya CECAFA.
Ebisaawe ebigenda okuzanyibwamu empaka ez’okusunsulamu eza CECAFA ye St Mary’s Kitende n’ekisaawe kye Nakivubo.
Empaka zino zigenda kubeerawo okuva nga 14 okutuuka nga 28 omwezi ogujja ogwa December,2024.
Ttiimu ya Uganda eyabali wansi w’emyaka 17 eya Uganda Cubs akalulu kagisudde mu kibinja A ne Tanzania, Ethiopia ne Burundi.
Ekibinja B mulimu bannantameggwa b’empaka ezasembayo aba Somalia, South Sudan, Kenya ne Sudan.
Mu kiseera kino Uganda Cubs etendekebwa mu nkambi ku FUFA Technical Center e Njeru wansi w’omutendesi Brian Ssenyondo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe