Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kikakasizza amawanga 24 agagenda okuvuganya mu mpaka za Africa Cup of Nations ezigenda okubeera e Morocco omwaka ogujja 2025.
Emipiira egy’okusunsulamu gikomekerezedwa mu kiro kya nga 19 November,2024, era omupiira ogusembeddeyo ddala bannantamegwa ba 2021 aba Senegal bakubye Burundi goolo 2-0.
Uganda yeemu ku mawanga 24 agagenda okubeera e Morocco, era egenda kuvuganya mu mpaka zino omulundi gwayo ogwomunaana, nga ebadde yasembayo mu 2019 e Misiri.
Uganda okugenda e Morocco eyiseewo nga namba 2 mu kibinja K n’obubonero 13, ate South Africa yekulembedde ekibinja kino n’obubonero 14.
Uganda egenda kukiika mu AFCON omulundi ogwa 8. Yasooka kuzannya mu 1962, 1968,1974,1976,1978 lweyazannya empaka z’akamalirizo nekubwa Ghana, yaddamu okukiika mu 2017 ne 2019.
Amawanga amalala agagenda okubeera e Morocco be bategesi bennyini aba Morocco, Burkina Faso, Cameroon, Algeria, Dr Congo, Senegal, Misiri, Angola, Equatorial Guinea ne Ivory Coast.
Endala kuliko bamulirwana aba Tanzania, South Africa, Gabon, Tunisia, Nigeria, Zambia, Zimbabwe, Comoros, Mali, Sudan, Benin ne Botswana ne Mozambique.
Wabula amawanga ag’amaanyi agatagenda kubeera Morocco kuliko Ghana abakawangula ekikopo emirundi 4 ne Guinea.
Empaka za Africa Cup of Nations e Morocco zigenda kubeerewo okuva nga 21 December 2025 okutuuka nga 18 January 2026.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe