Ekisulo ky’abayizi abalenzi ku ssomero lya Wamatovu Umea Secondary school e Nakirebe mu ggombolola ye Kiringente mu district ye Mpigi kikutte omuliro nekibengeya.
Essaawa zibadde zikunukkiriza okuwera esatu ez’ekiro kya nga 12 November, ekisulo nekikwata omuliro era tewali kintu kyonna kitaasiddwa.
Emmotoka z’abazinnya mwoto wezituukidde ng’ekizimbe kiguddemu.
Omu ku batandisi b’essomero lino Ssenono Faisal Zzaake agambye nti ekisulo kino kibadde kisulako abayizi bonna abalenzi okuva ku S.1 – S.6, era nga basigazza bitabo byokka ne uniform zebabaddemu mu bibiina mu kusoma okw’ekiro (preps).
Ekivuddeko omuliro tekinamanyika, wadde ng’ekisulo kino kibadde kyakira ku masannyalaze g’amaanyi g’enjuba.#