Olutalo wakati w’Abavubi ba Mukene n’Abempuuta mu bizinga e Ssese lweyongedde oluvanyuma lw’eggye erirwanisa envuba embi ku nnyanja okukkiriza abavubi ba mukene okuddamu okuvuba mukene nga bwebagoberera obukwakkulizo obwabatereddwawo.
Eggye erirwanisa envuba embi lyakkiriza abavubi ba mukene bavube mpola mpola oluvanyuma lw’okumala emyezi 8 nga balaajana, okuva lwebaabayimiriza.
Gyebuvuddeko baasisinkanye omukulembeze we ggwanga nebabako bye bakkiriziganyako okutumbula omulimu gwabwe.
Wabula, abakulembeze b’abavubi ba mukene mu nsisinkano gyebabaddemu nebanamawulire e Ssese, bagamba nti abavubi b’empuuta bagala kuyingiza byabufuuzi mu mulimu gw’obuvubi nga twolekera akalulu ka 2026.
Abavubi ba Mukene bamaze ebbanga eriwera nga bayita mu bugubi, oluvanyuma lwa Ab’envuba embi okuyimiriza abantu abavuba Mukene obutaddamu kuvuba.
Omwezi gumu emabega, oluvanyuma lw’okulaajana kw’ abavubi ba Mukene bakkiriziddwa baddemu bavube basobole okufuna ku Ssente bazze abaana ku masomero.
Wabula waliwo ebizze biwulirwa nti abavubi abakkiriziddwa okuddamu okukola baalagiddwa okusasula buli omu okusasula shs emitwalo 500,000/= akkirizibwe okudda ku nnyanja okuvuba.
Abavubi ba mukene ab’enjawulo, abakulembeddwamu Ssentebe w’egombolola Bubeke Charles Kalemba ne Ssentebe w’egombolola Mazinga Sunday Gerald Kayita, mu kwogerako ne Radio CBS eyobujjaja bategeezeza nti, bino eby’okusasuza abantu babiyise bigambo bya bannabyabufuzi, n’abavuba empuuta, nti olw’okuba bebokka abaagala okukozesa ennyanja, nebasalawo okulimirira aba mukene.
Alex Mukasa, omu ku bavuba mukene ku nyanja ategeezeza ekiseera kituuse Banabyabufuzi abatambulira mu kwonoona amannya g’abajaasi abalwanisa envuba embi ku nnyanja okukikomya, nti kubanga gyebigwera nga bazze mu kuzannya byabufuzi byabwe, kyokka ng’abavubi babonaabona.
Amyuka omubaka wa government e Kalangala Henry Lubuulwa, agambye nti embeera agenda edda mu nteeko ku nnyanja, era abavubi ababadde bamaze ebbanga nga tebakola bazzeemu okukwatagana n’abakulembeze saako amagye agassibwa ku nnyanja.
Government ezze eyimiriza abavubi ku nnyanja, ku higambibwa nti babadde bakozesa obutimba obukyamu n’okuvuba obwennyanja obuto, nti ekyali kimaze ebyennyanja ne mukene mu nnyanja.#