America eragidde government ya Rwanda ekulemberwa Maj. General Paulo Kagame, mbagirawo eggye amaggye n’ebyokulwanyisa byonna byerina ku ttaka lya Democratic Republic of Congo (DRC)
America obubaka buno ebuyisizza mu kitongole kyayo ekikola ku nsonga za Ssemazinga Africa ,ki Bureau of African Affairs, mweragidde obweralikirivu olwa government ya Rwanda okumenya obukwakkulizo obwakkanyizibwako bw’okusirisa n’okuteeka wansi ebyokulwanyisa mu kitundu Kyobuvanjuba bwa DRC.
America erumiriza Rwanda okubeera n’amaggye ,emizinga nebyokulwanyisa zzisa byalo mu DRC byerumiriza nti bikozesebwa abayeekera ba M23, government ya DRC beyogerako nti bawagirwa Rwanda nekigendererwa ekyokunyagulula eby’obugagga bya Congo n’okwezza ebimu ku bitundu bya DRC.
America wano wesinzidde neragira Rwanda mbagirawo okuggya amaggye nebyokulwanyisa byonna byeerina ku ttaka lya DRC.
America yeemu, eragidde government ya DRC okuymiriza mbagirawo okuvujjirira akabinja kabayeekera aka Democratic Forces for The liberation of Rwanda FDLR akawulirwa nti kasinziira mu DRC okuttigomya government ya Rwanda.
Alipoota nnyingi ezizze zikolebwa naddala ebitongole by’amawanga amagatte nga ziraga nti Rwanda erina amaggye munda mu DRC, agayambako akabinja ka M23 akoogerwako nti kavujjirirwa Rwanda okuttigomya government ya DRC.
Rwanda ekulemberwa Paulo Kagame ne DR Congo ekolemberwa Felix Tsheshekedi tezikyalimira ddala kambuga, nga buli ggwanga lirumiriza linaalyo okuvujjirira obubinja bwabayeekera okuttigomya eggwanga eddala.#