Abanoonyi b’obubudamu mu Palabek Refugee Settlement Site mu district ye Lamwo baguddemu ekyekango laddu ekubye bannabwe 14 nebattirawo.
Okusinziira ku mwogezi wa Police mu ggwanga Kituuma Rusoke, abantu 14 bafiiriddewo ate abalala 34 basigadde nebisago era baddusidwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Abasinga ku bano babadde bayizi.
Abafudde ye Nyamaet Thiluak myaka 17, Chaar Tok, Madol Wigjang ,Nyachot Mawichnyuon, Nyakueh Gatgueng, Jima Gat Took, Tany Tai,Tidial Gatluak, Chop Matia, Nyagai Diew,Nyathak Mariner, Lul Riek, Khamis Tut ne Tura Betu.
Abakoseddwa bakyagenda maaso nokufuna obujjanjabi mu ddwaliro Lya Paluda health center III.
Abantu abasiinga obungi mu nkambi ye Palabek settlement camp, baava mu South Sudan, era ng’enkambi eno erimu abanoonyi b’obubudamu abali mu mitwalo 85,000.
Laddu weyakubidde baabadde mu kusaba mu kifo ekyassibwawo nga kyazimbibwa mu mabaati.
Kituuma agambye laddu yakubye ku mabaati era gegaasinze okwokya abantu abaabadde bagaliraanye, nga bino byabaddewo ku ssaawa kkumi n’emu n’ekitundu nga 02 November,2024.#