President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa alonze amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi okukulembera akakiiko aka National Consultative Forum, akagatta ebibiina by’obufuuzi byonna ebiwandiikiddwa mu mateeka okudda mu bigere bya Dr. Ruhankana Rugunda.
Ssemateeka w’eggwanga yateekawo akakiiko ka National Consultative Forum okulungumya ebibiina by’obufuuzi ebiri mu ggwanga, n’okulondoola engabanya ya ssente eziva mu kakiiko k’ebyokulonda ezigabanyizibwa mu bibiina ebirina ababaka mu Parliament.
President Museveni, yalonze Kiwanda okudda mu bigere bya Dr. Ruhankana Rugunda mu nsisinkano y’akakiiko ka NRM ako ku ntikko aka CEC eyabadde mu maka go bwa President e Ntebbe nga 31 October,2024.
Amyuka Ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi ategezzezza nti akakiiko ka National Consultative Forum kaatekwebwawo Ssemateeka wa Uganda okuyambako ebibiina by’obufuuzi okulambika obulungi abakulembeze n’okwebuzanga ku nsonga ezenjawulo ezikwata ku muntu wa bulijjo.
Wabula abamu ku banabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya government okuli omubaka wa Parliament owa Buikwe South, Dr. Lulume Bayiga agambye nti akakiiko kano tekalina nnyo makulu kubanga ekibiina kya NRM kyakeefuga.
Godfrey Kiwanda Ssuubi asuubizza okukola omulimu obulungi, okulaba ng’ebibiina byonna biganyulwa n’abantu ba bulijjo.#