District ye Wakiso etandise okukola ku nteekateeka z’okukulakulanya omwalo gw’e Bugiri landing site ogusangibwa mu town council ye Katabi.
Abakulu okuva ku district webatuukidde ku nteekateeka z’okugukulaakulanya, ng’ettaka lyabwe kyenkana linatera okugwawo nga bannakigwanyizi baatandiika dda okwegabirako poloti nebeefuniramu omusimbi .
Ssentebe wa district ye Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika mu nsinsinkano gy’abaddemu n’abavubi ku mwalo guno abagumizza nti mpaawo muntu yenna agenda kugwobwa ku mwalo, wabula district eyagala bonna bawandiisibwe era bateekerweteekerwe.
Ssentebe Bwanika mungeri yeemu agamba nti betaaga era parliament eddemu erambike ku nsonga y’amagye agali ku nnyanja, olw’abavubi abemulugunya olw’okubatulugunya.
Abakozi mu district ye Wakiso agamba nti basanze ng’ettaka lya district eriweezaako yiika 4 ku mwalo guno lyeribadde terikozesebwa, era nga waliwo n’ababadde batandise okulikolerako mu ngeri emenya amateeka.
Wabula ate bbo abavubi kumwalo guno nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe David Kasujja balumiriza abakozi ba district okubeera mukkobaane ery’okumalawo ettaka lya district, nga baguzaako abantu obupoloti era nebabalagira okuzimbako.
Bisakiddwa: Ngabo Tonny