Ebbago ly’omubaka wa Mityana South Richard Lumu erigendereddwamu okukyusa engeri akulira oludda oluvuganya government mu parliament gyalondebwamu lisomeddwa omulundi ogusooka, nerisindikibwa mu kakiiko ka parliament ak’ebyamateeka kalyekenneenye.
Ayagala akulira oludda oluvuganya akubwengako kalulu ak’ababaka ababeera ku ludda oluvuganya government bonna.
Mu bbago lino ,omubaka Lumu ayagala ekibiina ekisinga ababaka abangi ku ludda oluvuganya government kiweerezenga amannya g’abantu 3 bekyesiga, eri akabondo akawamu babakubeko akalulu okusalawo anabakulembera.
Ayagala enkola eriwo, ey’akulembera ekibiina ekisinga ababaka mu parliament okutuula gyayagadde, nalonda buli gwayagadde nti yaaba abakulembera eveewo, kubanga bangi abalondebwa bakomekereza batambulira ku ntoli zaabo ababalonze okusinga okukola emirimu egirambikiddwa mu tteeka eryasaaawo ekifo kyakulira oludda oluvuganya government.
Mu bbago ly’etteeka lyerimu, omubaka Lumu ayagala ba minisiter ku ludda oluvuganya government bwebalondebwa ekibiina ekisinga ababaka mu parliament, amannya gaabwe gatwalibwe eri akabondo akawamu akakaba booludda oluvuganya government bakubwemu ttooki ,benyonyoleko okuzuula obusobozi bwabwe mu bifo byebaba balondeddwamu.
Lumu, ebbago lyeteeka lino yalyanjudde eri parliament, era anyonyodde nti okuva eggwanga lweryagenda mu nfuga y’ebibiina ebingi, mu mwaka gwa 2005, newatondebwawo ekifo kyakulira oludda oluvuganya government, etteeka teryalambulula bulungi ngeri akulira oludda oluvuganya gavunent gyalina okulondebwamu.
Abakulembeze b’ebibiina ebivaamu akulira oludda oluvuganya government bakola byebalowooza na byebaagadde.
Omubaka Lumu agambye ebbago ayagala lirambike engeri akulira oludda oluvuganya gavunent gyalina okulondebwamu.#