Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kironze baddiifiri bannauganda 2 okulamula omupiira gwa Madagascar ng’ettunka ne Gambia mu mpaka za Africa Cup of Nations Qualifiers ez’omwaka 2025.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa nga 11 October,2024 mu kibuga Casablanca ekya Morocco.
Madagascar ne Gambia ziri mu kibinja A.
Ali Sabila Chelangat wakubeera mu kisaawe wakati, ng’agenda kuyambibwako abawuubi b’ekitambala okuli Ronald Katenya ne Emmanuel Okudura, ate William Oloya ye ddifiri ow’okuna.
Uganda mu mpaka zino eri mu kibinja K ne South Africa, Congo Brazaville ne South Sudan, era ekulembedde ekibinja kino n’obubonero 4, okuli obubonero 3 bweyafuna ku Congo Brazaville nakabonero 1 keyafuna ku South Africa.
Uganda nayo egenda kudda mu kisaawe nga 11 October,2024 okuzannya ne South Sudan mu kisaawe e Namboole, ate okuddingana kuberewo nga 15 era omwezi gwe gumu mu kisaawe kya Juba Stadium.
Empaka za Africa Cup of Nations ez’akamalirizo zigenda kubeera Morocco okuva nga 21 December, 2025 okutuuka nga 18 January omwaka 2026.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe