Akakiiko k’eby’okulonda aka Uganda Electoral Commission kasuubizza abakulembeze ba FDC ekiwayi kya Katonga Road nti bakuyitibwa essaawa yonna bababuulire enteekateeka z’okuwandiisa ekibiina kyabwe ekiggya ki People’s Front for Freedom wezituuse.
Abakulembeze ba FDC nga bakulembeddwamu Ssalongo Eras Lukwago Mayor w’e Kampala era nga ye president w’ekiwayi kino ow’ekiseera babadde bagenze ku kakiiko k’ebyokulonda okusisinkana ssentebe waako Simon Byabakama wabula basanze taliiyo, era bamaze akadde nga temanyi kyebazaako.
Omumyuka w’omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Paul Bukenya abategeezezza nti ensonga zabwe zikolebwako era bakuyitibwa babategeeze ekiddako.
Wabula Lukwago akinogaanyizza nti tebagenda kusirika busirisi wadde nga leero baviiriddemu awo, nti bakusigala nga babanja akakiiko k’ebyokulonda.
Gyebubuddeko akakiiko k’eby’okulonda kaabawandiikira nekabategeeza nti ekibiina kyebagala okuwandiisa ki People’s Front for Freedom (PFF) nti kirina ekibiina ekirala ekyawandiisibwa edda kyekyefaananyiriza mu bigambo, saako ne langi eya bbululu n’enjeru zebassaayo nti nazo zirina ebibiina ebirala ebizikozesa, ekiyinza okuviirako okuzaabuza abantu.
Aba FDC Katonga baasalawo okukola enkyukakyuka mu byabalagibwa okukyusa, wabula tebanafuna kuddibwamu.