Club ya JKL Lady Dolphins ezeemu okusitukira mu liigi ya babinywera eya National Basketball League ey’omuzannyo gw’ensero ogw’abakazi oluvanyuma lw’okumegga club ya UCU Lady Canons ku bugoba 68 ku 56.
Ttiimu zino zibadde zirina okusisinkana emirundi 7, wabula bakomye ku mirundi 6 oluvanyuma lwa JKL Lady Dolphins okuwangulako enzannya 4 ate UCU Lady Canons n’ewangulako enzannya 2.
JKL Lady Dolphins ekikopo kino bakiwangudde omulundi ogw’okuna, nga basooka mu 2018, 2019 ne 2023.
Club ya JT Lady Jaguars y’ekutte ekifo eky’okusatu ate era n’erondebwa nga club esinze okwolesa empisa.
Hope Akello omuzannyi wa JKL Lady Dolphins ye muzannyi asinze banne okulaga omutindo ate Brenda Ekone era owa JKL Lady Dolphins yasinze okuteeba goolo enyingi.
Ttiimu eyabazannyi 5 esinze kuliko Shakirah Nanvubya owa UCU Lady Canons, Brenda Ekone ne Hope Akello aba JKL Lady Dolphins, Sarah Ageno ne Mercy Batambuze aba JT Lady Jaguars.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe