Club ya Villa Jogo Ssalongo FC ekansizza omuwuwuttanyi Sula Matovu Malouda okwongera okwetegekera season ya Uganda Premier League empya eya 2024/25.
Sula Matovu Malouda ekiseera ekiyise abadde talina club, kyokka era abadde atendekebwa ne Villa Jogo okumala ebbanga.
Sula Matovu Malouda era season ewedde yali muzannyi owa club ya Kayinda Boys, wabula ajjukirwa nnyo okuyambako ekika kye ekye Ngabi okuwangula engabo y’emipiira gy’ebika bya Baganda omwaka guno 2024.
AsUubirwa okuzannya omupiira gwe ogusooka ku club ya Villa Jogo Ssalongo olwaleero nga 16 September,2024, Villa ng’ettunka ne Mbarara City mu kisaawe e Wankulukuku kusaawa 10 ez’olweggulo.
Villa Jogo Ssalongo be bannantamegwa ba season ewedde, baawangula liigi eyo oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 20.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe