Ensonga z’ababaka ba Uganda mu mawanga amalala abaagobwa gyebuvuddeko olwa vulugu gwebenyigiramu, ministry yensonga zomunda mu ggwanga ezisindiise eri president Yoweri Kaguta Museven yaaba asalawo ekyokubakolera.
Kliko Joy Ruth Acheng eyali omubaka wa Uganda mu Canada, government ya Canada gweyanaabira mu maaso nemugoba mu nsi eyo
Omulala ye Ambassador Henry Mayega eyali omubaka wa Uganda mu United Arab Emirates government gweyayita okukomawo ku buttaka, era nayimirizibwa nga bwanonyerezebwako olw’ekitebbe kya Uganda mu United Arabs Emirates okukozesebwa okutereka ebyuuma ebizannya zaaala.
Minister omubeezi ow’rnsonga z’amawanga amalala Henry Okello Oryem abuulidde CBS radio nti wiiki eyise, oluvanyuma lw’ensisinkano y’ababaka ba Uganda bonna, eyatuula mu kibuga Jinja wano mu Uganda, ministry yensonga z’amawanga amalala yawandiikira president yaaba asalawo ku nsonga zababaka abo.
Minister Oryem agambye nti eyali omubaka wa Uganda muCanada Joy Ruth Acheng abadde enonyerezebwako akakiiko akakwaasisa empisa mu ministry y’ensonga zamawanga amalala, songa ye Ambassador Henry Mayega, abadde enoonyerezebwako ekitongole ky’eggwanga ekikettera ebweru w’eggwanga ekya ESO, ekitongole kya CMI ne Police.#