Alipoota y’Akakiiko akalafuubanira Obwenkanya mu ggwanga aka Equal Opportunities Commission, eraze nti Obusosoze mu ngabanya y’Obuweereza bwa government bweyongedde ebitagambika, naddala bwekituuka ku Bantu abatamanyiddwa nti banna Uganda, newankubadde mwebawangaalira.
Alipoota eno eraze nti Uganda erimu amawanga g’Abantu 65 okusinziira ku ssemateeka w’eggwanga, songa waliwo abatalambikiddwa nti bannansi naye nga mwebali tebalina walala gyebalaga, era nga basangibwa mu bifo ebirimu ebyobulambuzi mu ggwanga ebiyingiza ensimbi empitirivu naye nga tebaziganyulwamu kimala.
Alipoota eno enokoddeyo abantu abamanyiddwa nga ba Maragoli mu district ye Kiryandongo, Beneti mu district ye Kween , Bagabu mu district ye Kasese.
Abamu alipoota eno benokoddeyo bagamba nti bassibwa mu mawanga malala agatali gabwe, era bamanyiddwa ng’Abasongola, Banyabindi, Bamba, Aliba, Abamba,Gimara, Mvuba, Nyangai, nabalala bangi.
Alipoota eraze nti abantu bano n’Abalala tebasobola kufuna byetaago nga Ettaka ery’ensikirano, Ebyenjigiriza byabwe bibuusibwabuusibwa, eta tewali basobola kutembeeta nsonga zabwe kuzituusa mu parliament.
Alipoota yeemu ezudde nti abantu bano tebafuna Ndagamuntu wadde Passport, songa abamu ku batono abazirina bateekebwa mu mawanga malala gebawakanya nti ssi gaabwe era tegalambika kyebali.
Bwabadde ayanjula alipoota eno eri abasunsuzi b’Amawulire ne bannamawulire ku Kampala Freedom Hotel, akulira akakiiko akalondoola Obwenkanya Hajat Safia Nalule Juuko, asabye government eve mu kwebuzaabuza esitule embeera z’Abantu bano ez’ebyenfuna, kuba basangibwa mu bitundu omusinga okuteekebwa ensimbi olw’Ebyobulambuzi ebiri mu bifo gyebasangibwa.
Dr Shafti Nasser Mukwaya nga ye muwandiisi w’Akakiiko k’Obwenkanya atewgeezezza nti abantu bano obutafuna mukisa kussibwa mu ssemateeka wa ggwanga kirina engeri gyekifiirizaamu government, songa mungeri yeemu kiteeka ebyokwerinda by’Ensi eno mu matigga, kuba basosolwa nnyo.
Alipoota eno ewadde government amagezi esseewo akakiiko akenjawulo akavunaanyizibwa ku bantu bano, enkola enungamu ey’Okulondoola embeera z’Abantu bano, wamu n’Okukiikirirwa mu parliament nga bweguli ku balala.
Bisakiddwa: Kato Denis