Government kyadaaki esazizzaamu ebyapa byonna ebiri ku ttaka lye Kaazi, obuvunaanyizibwa neerizza eri gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka, liddukanyizibwe ekitongole ki Buganda Land Board.
Ekyama kino kibotoddwa ssaabawolereza w’Obwakabaka Owek Christopher Bwanika, mu nsisinkano ne bannamawulire b’Obwakabaka.
Kizuuliddwa nti ettaka lino erye Kaazi eryaweebwayo Obwakabaka eri abantu abenjawulo babwefuulira, nebafunirako abantu abalala ebyapa, awatali kumanyisibwa kwonna mu Bwakabaka, ekibadde kiviiriddeko entalo obutaggwa ku ttaka lino.
Owek Bwanika ategeezezza nti abantu abaali baweebwa ettaka lino okukolerako emirimu gy’Obusikawutu tebaagoberera ndagaano kwebaali baalifunira, songa ne bamusiga nsimbi abalinako ebintu byebataddeko tebatwala budde kukola kunoonyereza kumala, okuzuula oba baali balikozesa mu butuufu oba mu bukyamu.
Owek Bwanika mungeri yeemu annyonnyodde emitendera egiyitwamu okusazamu ekyapa kyonna ekiba kikoleddwa mu bumenyi bw’Amateeka gyagobereddwa, mwaasinzidde naalabula bonna abazze bakola ebyapa ku ttaka eririko ebyapa eby’enkomeredde okukikomya.
Ensala eno wetuukidde nga ettaka lye Kaazi liziimbibwako woteeri gaggadde, ebifo ebyokuwummulirwamu wamu n’ennyumba z’Abantu.#