Abantu 100 bawangudde tiketi ezibatwala mu kyondo kya Buwarabu n’Amawanga g’Obuvanjuba bwa Africa, oluvannyuma lw’Okusunsulwa mwabo abazze bakozesa enkola ya MTN Momo okusindika n’okufuna ensimbi mu Uganda n’ebweru waayo.
Enteekateeka eno etuukiddwako wakati wa Kampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines n’omukutu gwa MTN Momo nga yaakumala omwaka mulamba.
Bwabadde alangirira enteekateeka eno omubadde Okukwasa abawanguzi abasoose 30 tikiti z’ennyonyi ku kitebe kya MTN ekikulu mu Kampala, akulira eby’Okusindika ensimbi ebweru wa Uganda ne munda Fatumah Shamim Kavuma, ategeezezza nti kino kikoleddwa okusobozesa abantu abazze baweerezebwa abenganda zaabwe ensimbi okufuna ku mukisa ogukyalako mu mawanga gebweru.
Clare Nakaayi kitunzi mu Uganda Airlines ategeezezza nti enkolagana eno yakwongera okutunda ennyonyi ya Uganda emitala wa Mayanja, n’Okuwa omukisa abasuubuzi abakozesa emitimbagano okutambuza ensimbi.
Ssenkulu w’Ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ki KACITA Abel Mwesigye, asabye abasuubuzi okwongera okujjumbira okutambuliza ensimbi ku mitimbagano, okwewala okufiirizibwa okubaddemu okubbibwa n’Okutemulwa bannakigwaanyiizi.
Bisakiddwa: Kato Denis