Club ya Villa Jogo Ssalongo erangiridde nti egenda kukozesa ekisaawe kye Wankulukuku ng’amaka gaayo mw’egenda okukyaliza emipiira egya season ejja okuva mu kisaawe kye Namboole.
Villa nga be bannantameggwa ba season ewedde 2023/2024 bakuyingira ekisaawe nga 16 September,2024 nga bazannya ne club ya Mbarara City.
Villa Jogo Ssalongo mu kusooka ebadde yalonda Namboole ng’amaka gaayo amagya, wabula ensonda ezesigika zikakasiza nti obuseere bwe kisaawe kino bubagobyeyo, ne badda mu kisaawe e Wankulukuku.
Kinnajukirwa nti Villa Jogo Ssalongo yazannyidde mu kisaawe e Namboole bwe yabadde ettunka ne club ya Commercial Bank of Ethiopia mu mpaka za CAF Champions League omutendera gwa preliminary, kyokka ekisaawe kino kumpi kyabadde kikalu, era abakulu basaba emitwalo 5 ku miryango.
Ekisaawe kye Wankulukuku, kati Villa Jogo Ssalongo egenda kukikozesa season ey’okusatu ey’omuddiringanwa, wabula nga banywanyi baayo aba Express mukwano gwabangi bwe babadde bakikozesa, baagenze mu kisaawe kye Nakivubo.
Uganda Premier League season ejja egenda kutandika nga 13 September,2024.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe