Government ng’eyita mu ministry yebyentambula n’enguudo, eyanjudde ebbago ly’etteeka erigendereddwamu okulungamya ba yinginiya mu ggwanga erituumiddwa The engineers Proffessional Bill 2024.
Ebbago ly’etteeka lino ligendereddwamu okuggyawo etteeka ekadde eririwo erya The engineers Registration Act eryabagibwa mu mwaka gwa 1969,government lyegamba nti likaddiye nnyo terikyasobola kulungamya ba yinginiya mu ggwanga
Ebbago lyetteeka lino, erya The Proffessional Engineers Bill 2024, lyanjuddwa minister omubeezi owebyentambula nenguudo Moses Ecweru mu lutuula lwa palament olugenda mu maaso mu kibuga Gulu
Mu bbago ly’etteeka lino, government eyagala okuteekawo ebbanguliro erinaatuumibwa the Uganda institute of Proffessional Engineers ,nga lino lyakubangula ba engineers, okubawandiisa, nokubawa certificate mu mulimu guno.
Ebbago lyetteeka lino, sipiika Anita Among alisindiise eri akakiiko ka parliament akalondoola ebyentambula n’enguudo kalyekeneenye.#