Ekitongole ekivunanyizibwa ku mbuuka z’ennyonyi mu Uganda ekya Uganda Civil Aviation Authority eraze nti omuwendo gw’ennyonyi eziyita ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe gweyongedde, okuva ku nnyonyi 14,575 okudda ku nnyonyi 15,223.
Alipoota eraze nti ennyonyi zino zibeera zeyongeddeko ebitundu 10.3%. nga bino byonna nti bizeewo olw’nkyuukakyuka ezaakolebwa ez’okuddaabiriza ekisaawe ky’ennyonyi Entebbe kituukane n’omutindo.
Mu alipoota eyanjuliddwa abamawulire efulumiziddwa senkulu wa Uganda Civil Aviation Authority Fred Bamwesigye kitegerekese nti mu myezi 6 egiyise abasabaze 226,795 be beyongeddeko okutambulira ku kisaawe okuyingira n’okufuluma eggwanga, bwogerageranya nga bwe baali mu June wa 2023.
Bamwesigye agambye nti okuva omwaka guno 2024 lwe gwatandika, abasaabaze 1,069,224 be batambulidde ku kisaawe nga ku bano abasabaze 527,692 be baayingira, ate abafuluma Uganda okwolekera amawanga amalala bali 541,532.
Okutwalira awamu abasaabaze 5,886 betambulira ku kisaawe buli lunaku, bw’ogatta abayingira n’abafuluma eggwanga.
Ku ludda olw’emiggu n’ebyamaguzi ebiyisibwa ku Kisaawe, Bamwesigye agambye nti metric tonn 32,794 ze zaayingizibwa ate metric tonn 22,380 zezaafuluma.
Kino kiraga nti ebyamaguzi ebifuluma eggwanga byeyongeddeko ebitundu 18.9%, ate ebiyingira byeyongedde nebitundu 46.2%, nga bisaabazibwa mu nnyonyi.
Olive Birungi Lumunya amyuka senkulu wa Uganda Civil Aviation Authority,agambye nti omulimu gw’okugaziya n’okuddaabiriza ekisaawe werutuukidde leero nga gutuuse ku bitundu 96% gwonna, wasigaddeyo kitono okugibwako engalo.
Bisakiddwa: Kakooza George William