Abamu ku bantu abaakosebwa enkulakulana y’okuzimba essundiro ly’amasanyalaze erye Karuma, mu West Nile, beekubidde enduulu eri president Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, baliyirirwe olw’okubonaabona kwebayiseemu okumala emyaka 11.
Government ya Uganda yatandika okuziimba ebbibiro ly’amafuta erye Karuma n’ekigendererwa eky’okwongeza ku bungi bw’amasanyalaze agasuundibwa mu ggwanga, era abantu bangi baasengulwa ku ttaka naye ng’abamu tebaaliyiririrwa.
Ministry evunaanyizibwa ku masanyalaze, egamba nti ebbibiro lye Karuma erimanyiddwa nga Karuma Hydro project, lisuubirwa okutongozebwa essaawa yonna.
Abatuuze okuva mu maka 119 beebamu ku babadde babonabona emyaka gino gyonna, nga bagamba nti batambudde mu wofiisi ezenjawulo bakooye naye tebafuna buyambi.
Nga bakulembeddwamu Ojik William, okuva e Karuma, mukiwandiiko kyebasomedde bannamawulire kyebatwalidde president ne ssabalamuzi wa Uganda Owinyi Dollo, baagala government eddemu yeetegereze enteekateeka eyagobererwa mu kuliyirira abantu abagambibwa nti baasasulwa,so ng’ate n’abamu abaafuna ssente bagamba nti baadondolwa ekisusse.
Ochwee Suzanne, omu ku batuuze nga yaakikiridde abakyala n’abaana abakoseddwa mu nteekateeka eno, agambye nti balinawo n’ekizibu kyaba China abaajja mu bitundu okukola ku pulojekiti nebaganza abawala ate nebatalabirira mbuto zabwe.
Christine Atero, agamba nti baamutwalako amakage n’ettaka, naaliyirirwa emitwalo 580,000/- zokka, nti nebyebaamusuubiza omuli okumuzimbira amaka amalala tebaabimuwa.
Abatuuze bano nga bayambibwako bannamateeka baabwe abakulembeddwamu, Aryampa Brighton, ne Robert Kugonza Akiiki, okuva mu kitongole ekitakabanira obutonde ekya Friends with Environment in Development, (FED), bagambye nti bakubayambako okufuna obwenkanya, era bavumiridde enkulakulana ereetebwa ngate enyigiriza bannansi.
Wabula kawefube wa Cbs, okwogera n’abakungu mu ministry yebyamasanyalaze okubaako kyebatangaaza ku nsonga eno ekyagudde butaka.
Bisakiddwa: Ddungu Davis