Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala Paul Ssemogerere awadde Abadyankoni 14 omuluka Ogw’obusasolodooti ate n’abasebinaaliyo 23 omuluka Ogw’obudyankoni mu Eklezia Katulika.
Omukolo guno ogwetabyeko nnamungi w’omuntu guyindidde ku Lutikko e Lubaga.
Ssaabasumba akulisizza abagole n’abeebaza okwevaamu nebeesowolayo okuweereza Katonda.
Ababuuliridde nti omulimu gwebayingidde sibeebagusooseemu, n’abawa amagezi okugutwala nga gwa kitiibwa, era baweese Katonda ekitiibwa bagutuukirize nga tebaguswazizza, nti kubanga sigwabwe ng’abantu wabula gwa Kristu eyabaangawo Eklezia.
Ssaabasumba abagumizza nti Katonda yennyini abalonze okumuweereza, yennyini anaabasobozesa okuweereza kubanga wakubeera nabo mu biseera byonna
“Katonda tasobola kukola nsobi, tasobola kukuwa kyotasobola, awonno mugume”.
Abasabye baweereze abantu ba Katonda mu bwetoowaze ne mu kwagala, beewale amalala n’ebirala ebiyinza okubasuula.
Mu ngeri yeemu Ssaabasumba yeebazizza nnyo abazadde b’abavubuka bano abalinnyisiddwa emiruka, okukkiriza abaana baabwe okuweereza Katonda mu Eklezia obulamu bwabwe bwonna.
Abaweereddwa Obusaaserdooti ye; Rev. Fr. Marvin Lukyamuzi, Rev. Fr. Victor Ssemwogerere, Rev. Fr. Edward Ssonko, Rev Fr. John Bosco Matovu, Rev. Fr. Joseph Kiwuuwa, Rev Fr. Denis Ssennyondo, Rev Fr. Henry Kalanzi, Rev Fr. Richard Sserugo, Rev. Fr. Edward Kironde, Rev Fr. Yowas Tumusiime, Rev Fr. Kaddu Augustine, Rev Fr. Paul Mutaasa, Rev Fr. Pius Kayanja ne Rev Fr. Godwin Cekecan.
Abaweereddwa Omuluka Ogw’obudyankoni ye; Dn. Anold Ochang, Dn. Augustine Lwanga, Dn. Joseph Balikuddembe Yiga, Dn. Raymond Balikuddembe, Dn. Bernard Mukiibi, Dn. Lawrence Luzinda Lwanga, Dn. Cleophus Ssentamu, Dn. David Luggya Mwebe, Dn. Francis Kasujja, Dn. Fredrick Kikomeko, Dn. James Kagawa, Dn. John Paul Onyango, Dn. John Ssendegeya, Dn. Reagan Daniel Kisitu, Dn. Maxmillia Ntambi, Dn. Nicholas Mukwaya, Dn. Raymond Ssegawa, Dn. Nowelo Desidereo, Dn. Jude Thadeus Buwuule, Dn. Vincent Ssemwanga, Dn. Tom Vicent Yiga, Dn. Nganzi Victor Anthony ne Dn Friar Ronnie Kibagajjo.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.