Police ekutte omuntu omu ateberezebwa okubeera mu kkobaane ly’okubba emmotoka etambulirako abakuuma bassabapolice wa Uganda IGP Abbas Byakagaba,eyabiddwa mu nkambi e Kireka.
Kigambibwa nti waliwo abaalumbye enkambi ya police esangibwa e Kireka mu district ye Wakiso mu matumbi budde, ne bakuliita n’emmotoka eno.
Kigambibwa nti ababbi baasobodde okulabiriza abakuumi b’enkambi nebatwala emmotoka eriko namba za digital, ezaaletebwa government okulwanyisa obumenyi bw’amateeka No. UP 00135.
Police egamba nti okunoonyereza kugenda mu maaso era yakakwatayo omuntu omu agambibwa okubeera mu kkobaane lino.
Wabula omwogezi wa police mu ggwanga Rusoke Kituuma agambye nt emmotoka ya Ssabapolice yennyini gyatambuliramu ssiyeyabbiddwa.
Wabula ne minister w’e ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda Otafire , ategezeza CBS nti camera ezaassibwa mu bifo ebyenjawulo zakubayamba okukwata ababbye emmotoka, era alagidde Ssabapolice okumukolera alipoota ku byabaddewo.
Kinajjukirwa nti ne mu mwaka 2018 embeera bweti yaliwo ey’okunyaga emmotoka z’abakungu ba police, era okunoonyereza kwakolebwa ne wabaawo abantu abakwatibwa sso nga nemmotoka eyali ebiddwa yalabika.#