Mu mpaka z’ensi yonna eza Olympics eziyindira mu kibuga Paris ekya Bufalansa, America yekyasinga emidaali emingi giri 71.
America erina emidaali gya zaabu 19, feeza 26 n’egyekikomo 26.
China eri mu kifo kyakubiri n’emidaali 45 okuli egya zaabu 19, feeza 15 n’egyekikomo 11.
Abategesi aba Bufalansa bali mu kifo kyakusatu n’emidaali 44 okuli egya zaabu 12, feeza 14 n’egyekikomo 18.
Australia eri mu kifo kyakuuna n’emidaali 31 okuli zaabu 12, feeza 11 n’egyekikomo 8.
Bungereza eri mu kifo kyakutaano n’emidaali 37 wabula nga erina egya zaabu mito 10, feeza 12 n’egyekikomo 15.
Uganda eri mu kifo kya 35 n’omudaali gumu ogwa zaabu ogwawanguddwa Joshua Cheptegei mu misinde gya mita omutwalo gumu.
Wabula Uganda era ekyalina esuubi ery’okwongera okuwangulayo omudaali omulala, nga abaddusi okuli Joshua Cheptegei, Jacob Kiplimo ne Oscar Chelimo baakukomawo mu kisaawe ku Wednesday nga 7th August,2024 okudduka emisinde gya mita 5000 egy’okusunsulamu, n’oluvanyuma fayinolo ebeerewo ku Saturday.
Peruth Chemutai wakudduka emisinde gy’abakazi mita 3000 egya steeplechase, nga alwana okwediza omudaali gwa zaabu gwe yawangula mu mpaka za Olympics ezaali mu Tokyo Japan.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe