Police mu district ye Mbale eggalidde omukazi ow’emyaka 50, ku bigambibwa yabbye omwana ow’emyezi esatu okuva ku nyina amuzaala.
Namagembe Mwajub, omutuuze ku kyalo Namawanga mu gombololaye Bungokho átemeza emabega wÉmitayimbwa,oluvannyuma lwÓkubba omwana ow’emyezi esatu okuva ku Nyina Shakira Nakato omutuuze ku kyalo Bushikori.
Kigambibwa nti Namagembe amaze ebbanga ddene ng’alimba muganziwe Yefusa Makings nti ali lubutolwe, so nga tekibadde kituufu.
Omwogezi wa police mu bendobendo lya Elgon Rogers Taitika, ategeezezza nti omukwate wakutwaalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe, era nga kati akyakuumibwa ku police ye Busoba .
Bisakiddwa: Kato Denis