Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Kenneth Ssemakula, mu butongole yegasse ku Club Africain egucangira mu liigi ya babinywera eya Tunisia.
Kenneth Ssemakula atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2 ng’acangira club eno endiba.
Ssemakula y’abadde musaale nnyo ku ttiimu ya Villa Jogo Ssalongo eyawangudde Uganda Premier League season ewedde, oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 20 nga tebawangula kikopo kino.
Kenneth Ssemakula afuuse munnayuganda ow’okutaano okuzannyira mu liigi ya Tunisia.
Abaasookayo ye Jackson Mayanja eyazannyira club ya Esperance, Emmanuel Okwi eyazannyira club ya Etoile Du Sahel, Yunsu Ssentamu eyazannyira club ya CS Sfaxien ne Richard Kasagga eyazannyira club ya Olympique Beja.