President wa Uganda Yoweri Tibuhaburwa Museveni akaangudde ku ddoboozi eri abantu abasanyaawo obutonde bwénsi nga beesenza mu ntobazzi, ebibira embalama zénnyanja némigga, nálabula nti government tejja kubattira ku liiso era bonna balina okwamuka ebifo ebyo mu bwangu ng’omukono ogw’ekyuma tegunabatuukako.
President Museven abadde ayogerako eri eggwanga ng’ayita ku mituku gy’ebyempuliziganya egyenjawulo, anogaanyizza obukulu bwéntobazzi nébifo ebyo ebikuumye obutonde bwénsi, nti bino byébisinga okukola enkuba etonnya mu bitundu bya Uganda ebisinga obungi, nti era bwe binasaanyizibwawo Uganda eneeba eyolekedde okufuuka eddungu, embeera efaananeko ngéri e Karamoja, government ye kyétejja kukkiriza.
President aggyeeyo n’ebyafaayo nánnyonnyola nti abantu abamu abeeyogerako nti baali baasenga dda mu bifo ebyo omuli entobazzi nti bakuusa, era alaze maapu yékitongole kya NEMA eraze nti abantu abasinga abaasenga mu lutobazi olwómugga Lubigi, ebitundu ebyo okusinga baabigendamu ebbanga ttono eriyise, nti kubanga emyaka 20 egiyise ebifo ebyo byali bikalu, okusingira ddala mu bitundu byé Gganda ne Naakuwadde.
Agambye nti olutalo ku migga néntobazzi lusinga wano mu Buganda, ngémigga egisinga abantu bagiyingiridde, omuli Ddanze, Lumansi, Lugogo, Mayanja, Ssezzibwa, Lwajjali, Lubigi némirala, era nti bonna abajirimu balina okugyaamuka,
Bwatyo president akinogaanyizza nti olwóbukulu bwókukuuma obutonde, ate ngénsonga eno ekwata ku bulamu bwábantu, government ye tejja kusirika busirisi ngábantu bonoona ensi.
President Museveni awolerezza ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya NEMA ekyataandika okusengula n’okumenya ennyumba z’abantu abali mu lutozzi lwa Lubigi n’awalala nti kigende mu maaso, naakkaatiriza nti ssiwakukkiriza bantu kusenga mu ntobazzi newankubadde NEMA teyakola gwayo ogw’okubakomako.
Agambye nti newankubadda abantu ne bannabyabufuzi babadde bakolokota NEMA, olwobutatangira bantu kwesenza mu ntobazi tekiwa bantu bbeetu kwesenza mu bifo ebyo, nga bakimanyi bulungi entobazi n’obutonde bw’ensi obulala bwe bulamu bw’ensi.
President Museveni era akalambidde nti tewali muntu yenna asengulwa mu ntobazzi agenda kuliyirirwa government era naalabula abakyesisiggirizza okuzaamuka mu bwangu.
President era akunze Bannayuganda bongere amaanyi mu kukola emirimu egivaamu ensimbi balwanyise obwavu mu maka gabwe néggwanga lyonna okutwalira awamu.
Agambye nti mu kiseera kino ebintu 4 abantu byebalina okusaako amaaso basobole okufuna ensimbi okulwanyisa obwavu; obulimi nóbulunzi, okuzimba amakolero, okutumbula emirimu egyóbuweereza, nókutumbula science ne tekinologiya.
Agambye nti afunye abantu bangi abakolanga eky’okulabirako abalaga nti ddala abantu basobola okwerwanako nebava mu bwavu, singa babeera bavudde mu kwetuulako.
Alina obutambi bw’abalimi n’abalunzi bwalaze bannauganda, omuli abalunda enkoko, embizzi, ente, abalima emmwanyi, ensuku n’ebirala.
Abazadde abawadde amagezi okwagazisa abaana emirimu gy’obulimi n’obulunzi baleme kulowooleza mu gya wofiisi gy’agambye nti tegiriiwo egisobola okumala abantu bonna.
Agambye nti atali mwetegefu kwerwanako kuva mu bwavu aleme kwogerera nteekateeka za government mafuukuule.