Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwanyi mu ggwanga ki Uganda Coffee Development Authority kinoonya Obuwumbi bwa shs 22, ku buwumbi 35 ezetaagisa okuwandiisa n’okulondoola abalimi b’emwaanyi bonna mu ggwanga, okusinziira ku kiragiro ky’amawanga amagatte.
Omukago gw’amawanga ga Bulaaya ogwa European Union mu mwaka gwa 2020 gwayisa ekiragiro eri amawanga agatunda emmwaanyi n’ebirime ebirala e Bulaaya , nga gugamba tegugenda kuddamu kukkiriza mmwanyi zibeera zirimiddwa mu bifo omutemeddwa ebibira.
Omukago gwegumu gwateekawo nsalessale wa nga 30th December,2024 nga okuwandiisa abalimi b’Emwaanyi mu Mawanga agazitunda e Bulaaya kuwedde, wabula kikyaalemye Uganda okutuukiriza mu kiseera kino esigadde emyezi 5 gyokka.
Bwabadde asisinkanye abalimi b’emmwaanyi okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo ku Hotel Africana mu Kampala, akolanga ssenkulu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwanyi mu ggwanga Dr Gerald Kyaalo, ategeezezza nti ku Buwumbi 35 ezetaagisa bakafunako 13 bwokka okulondoola n’okuwandiisa abalimi b’emmwaanyi, ekiyinza okugotaanya akatale k’emmwanyi za Uganda ku lukalu lwa Bulaaya.
Omubaka Omukyala akiikirira district ye Kiboga Christine Kaaya Nakimwero asinzidde mu nsisinkano eno naasaba government ebeere neerufu ku nteekateeka y’okuwandiisa abalimi b’emmwaanyi, n’okukakasa nti tegendereddwamu kutataaganya byanfuna by’abantu.
Nakimwero mungeri yeemu asabye amateeka agafuga eby’obulimi mu Uganda gongerwemu amaanyi, okusimba emiti kissibwe mu mateeka agafuga abalimi ku lw’obulungi bwensi yonna.
Herbert Kafeero omukwanaganya w’emirimu mu SEATINI Uganda ekitongole ekikwanaganya emirimu gy’ensuubulagana wakati wa Uganda n’Amawanga amalala, asabye government i z’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa ne Africa yonna ezitwala emmwanyi ku katale k’amawanga ga Bulaaya, obutaba batitiizi ku budde obwabaweebwa, wabula boogeze eddoboozi erya wamu ng’embeera tenatabuka.
Werutuukidde leero nga Uganda etunda emmwanyi eziweza ebitundu 60% ku katale k’Amawanga ga Bulaaya, wabula nga nnyingi ku Mwaanyi zino zirimwa mu Buganda.
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu ntekateeka yaabwo eya Mmwanyi Terimba mu mwaka 2017 bwatandika okukunga abantu ba Kabaka okulima emmwanyi, era werutuukidde leero nga ebyenfuna byabantu ba Kabaka byongedde okusituka olw’amaanyi ezeyongedde.
Bisakiddwa: Kato Denis












