President wa Kenya Dr William Samoei Arap Ruto yeekyaye; afuumudde ba Minister be bonna, n’asigaza omumyuka we ne ssaabaminisiter, nga bano ekibataasizza ye ssemateeka atakkiriza President kumala gabagoba.
President Ruto mu kiragiro kino agobeddemu ne Ssaabawolereza wa government Justin Muturi, n’alagira abateesiteesi abakulu mu Ministry zonna beddize obuvunaanyizibwa obulondoola enzirukanya y’emirimu, okutuusa ng’alangiridde government empya.
Ssaabaminister Musalia Mudavadi, era nga ono ye Minister wa Kenya ow’ensonga z’ebweru, yekka y’asigaddewo ku lukiiko lwa baminister, ate nga omumyuka wa President Rigathi Gachagua naye ssemateeka amuwonyezza ekyambe.
Obusungu bwa Ruto buvudde ku byaliwo wiiki bbiri eziyise, bannansi bwe beekumamu omuliro nga beeyambisa emitimbagano, ne beekalakaasa mu nga bawakanya etteeka ly’emisolo.
Abeekalakaasi baatuuka n’okwokya Parliament y’eggwanga, ne bookya n’ekitebe kya Uganda mu kibuga Nairobi, embeera bwe yatabuka Police n’ekuba amasasi mu bantu, kigambibwa nti abantu 6 bebaafiira mu kwekalakaasa okwo, wabula bannansi tebaayimiriza kwekalakaasa.
Bino gye byaggweera nga Ruto apondoose etteeka n’alyesonyiwa, era ne yeetondera eggwanga olwebyaliwo, n’alumiriza nti abakungu mu government ye be baamutomeza.
Kinajjukirwa nti mga 05 July,2024 President Ruto yawaayo akadde okuwuliriza bannansi abakozesa omutimbagano ogwa X, n’abawa omukisa beeyabye nga teri abakuba ku mukono, era n’ayanukulako be yasobola.
Ku lunaku olwo Bannakenya Ruto kaabula kata bamutuge, baamulangira obunnanfuusi, ne bamuvumirira olw’okwesibako ababbi abawedde emirimu, abandi baamulangira obutalumirirwa bantu ba bulijjo, n’okuyiwaayiwa ensimbi mu ngeri ey’ekyeyonoonero.
Ensisinkano ya Ruto n’abantu ku mutimbagano gwa X, mu kusooka yali yaakumala essaawa 3 zokka; wabula Ruto bwe yawulira obusungu obuli mu bantu yayongeramu essaawa endala 2, abantu ne beeyabya okumala essaawa 5 ezeekutte.
Kirowoozebwa nti ebyava mu bantu bano abasukka mu mitwalo 15 abaali ku mutimbagano kw’olwo, by’ebimu ku byatanula Ruto okukuba ttooci mu Baminister be, n’akizuula nti bulijjo abisse lubugo; lubaale mubbe.
3 ku ba minister abagobeddwa; baali babaka ba Parliament wabula ne balekulira ebifo byabwe mu parliament nga ssemateeka bw’alagira, olwo ne basalawo batwale obwa Minister, era kati bano basobeddwa eka ne mu kibira.
Ku lw’okuna lwa sabbiiti ewedde; Ruto yatuuza olukiiko lwa ba minister nga tannawuliriza bannansi kye bagamba, wabula ebyava mu nsisinkano eyo kigambibwa nti bulyomu yakimanyirawo nti bubakeeredde, era amawulire mu Kenya gaawandiika nti Ruto alidde ekyeggulo ekisembayo n’abayigirizwa be.
Ruto okufuumuula ba Minister be; akikoze kukkakkanya mitima gya bannansi abongedde okumukyawa, nga n’abamu babadde batandise okukangula ku maloboozi nti alekulire abaviire, omwana gwe bajja mu kyalo atandise okubakaabya amaziga.
Wadde ekikoleddwa Ruto kikanze bangi; guno si gwe gusoose President okuyiwa Cabinet yonna; mu mwaka 2005 President omugenzi Emerio Stenely Mwai Kibaki yayiwa Cabinet yonna, oluvannyuma lwa bannansi okumugobya ennongoosereza mu ssemateeka wa Kenya, mu kalulu ak’ekikungo ke yategeka.
Bikungaanyiziddwa: Joshua Musaasizi Nsubuga