Abakulembeze ba bank z’ebyobusuubuzi ezenjawulo okuyita mu kibiina ekya Institute of Banking and Financial Services Uganda, (UBIFS), basazeewo okuyingira mu ntegeka z’okuvujjirira enteekateeka yókuyiikula amafuta ga Uganda, ngeerimu ku makubo ag’okubbulula ebyenfuna bya Uganda.
Babadde mu nsisinkano gyebabaddemu ku Sheraton Hotel mu Kampala.
Lubadde lukungaana olw’omulundi ogwa 21 olw’okukuba tooci mu mirimu gyabwe, ogwetabiddwamu ne bank z’omuwanga amalala aga East Africa okuli Kenya ne Tanzania.
Mary Gorreti Masadde ssenkulu w’omukago ogwa Institute of Banking and Financial Services Uganda, agambye nti emirimu gy’okusima amafuta kirimu amakubo mangi mwebasobola okuyita okukolera Uganda ensimbi n’okugaziya ku byenfuna byeggwanga, okuyita mu kitavvu ky’abakozi ekya NSSF.
Masadde era agambye nti basanyufu olw’emikutu egyeyongedd, abantu mwebasobola okuyita okwewola nokutereka ssente mu Uganda awatali kwesigama ku bank zokka.
Bisakiddwa: Ddungu Davis