Ba neekoleragyange mu butale n’ebusiness endala entonotono baweereddwa amagezi okweetegekera omugendo gw’Okutambuliza ensimbi ku mitimbagano, okufaananako amawanga gannaggwadda agatakyatambuliza nsimbi mu nsawo.
Akulira enkola ya MTN Momo Jemima Kariuki agambye nti okukula kw’ensi mu mpeereza za tekinologiya kutwaliramu entambuza ya business ku mitimbagano, naasaba abakolera mu butale okukomya okwetuumako ensimbi.
Kariuki abadde mu katale e Nakawa mu kutongoza enkola etuumiddwa “Zimba business ne Momo” abatandisi ba Business Entonotono mwebagenda okuyita okutunda n’Okugula emmaali.
Mungeri yeemu Kariuki agambye nti bakutalaaga eggwanga lyonna okumanyisa bannansi enkola ya MTN Momo,okukakasa nti eby’okwerinda by’Abantu abalina ensimbi biba binyweevu.
Okutambuliza ensimbi ku mitimbagano kwongedde okusasaanira ensi yonna, oluvannyuma lw’Okuzuula nti okuzitambuliza mu bisawo kwaabulabe eri bannyinizo.
Bisakiddwa: Kato Denis