Empaka z’ekikopo ky’omupiira gw’amasaza ga Buganda eky’omulundi ogwe 19, kitongozeddwa.
Emikolo gibadde mu Bulange e Mengo.
Empaka za masaza ez’omwaka guno zigenda kutandika ku Saturday nga 22 June,2024.
Bulemeezi eyawangula empaka ezaasembayo egenda kuggulawo ng’etttunka ne Buluuli mu kisaawe kya Kasana Luweero.
Gomba yekyasinze okuwangula empaka zino emirundi 5, Bulemeezi ne Mawokota emirundi 3 buli omu.
Buddu ne Ssingo emirundi 2 buli omu, olwo Kkooki, Kyadondo, Buluuli ne Busiro bakaziwangula omulundi gumu gumu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde atongoza empaka zino, akubiriza abavubuka babeere basaale nga bakozesa omukisa Kabaka gwabateereddewo okukuza ebitone byabwe nga bakyali bato, nga bakozesa empaka z’ebyemizannyo ezenjawulo ezitegekebwa Obwakabaka omuli n’emipiira gy’amasaza.
Empaka z’amasaza zaatandika mu 2004.#