Embalirira ya Uganda ey’omwaka gw’ebyensimbi 2024/2025 ya trillion 72 n’obuwumbi 136 eyanjuddwa eri eggwanga.
Omukolo gubadde ku kisaawe e Kololo.
President w’eggwanga Yoweri Kaguta Museven ne mukyala we Janat Kataha Museven, ssaabaminister , ba minister ababaka ba parliament, ababka b’amawanga amalala mu Uganda n’abalala.
Embalirira y’eggwanga esomeddwa erinnyisiddwa okuva ku trillion 52 n’obuwumbi 736 eziri mu mbalirira ey’omwaka guno ogugenda okugwako 2023/2024.
Minister w’ebyensimbi n’okuteekerateera eggwanga Matia Kasaija y’asomye embalirira eno, wabula ng’esoose kukakasibwa ba minister bonna abakwatibwako eby’ensimbi.
Olutuula luno lukubiriziddwa sipiika wa parliament Annet Anitah Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa ne ba Commissioner ba parliament.
Ku trillion 72 n’obuwumbi 136 ez’embalirira y’omwaka ogujja 2024/2025, government esuubira kukungaanya omusolo gwa trillion 31, ezisigadde trillion 41 zakuva mu kwewola n’okufunayo obuyambi obwenjawulo.
Trillion 9 zakusasula amagoba ku mabanja agaze gewolebwa, trillion 3 nobuwumbi 149 zakusasula ku mabanja gennyini agazze gewolebwa okuba mu mawanga n’ebitongole by’ebweru, a trillion 12 zakusasula agamu ku mabanja agewolebwa munda mu ggwanga.
Ensimbi trillion 7 n’obuwumbi 926 zakusasula misaala nensako y’abakozi ba government.
Eby’obulamu biteekeddwamu trillion 2 n’obuwumbi 946. Kuliko ezigenda okuwandiisa abasawo abaggya naddala mu malwaaliro agaAsuumusibwa okuva ku mutendera gwa Health Center II, okutuuka ku mutendera gwa Health center III, okugula eddagala, okuzimba amalwaliro amalala n’okuddaabiriza agaliwo, saako okugula ebyuma eby’omulembe mu malwaliro okuli Uganda cancer Institute , Uganda Heart Institute namalala.
Ebyenjigiriza biteekeddwamu trillion 2 n’obuwumbi 497. Kuliko ezigenda okuzimba laboratories 21 ku massomero ga seed secondary schools okwetooola eggwanga, era ng’ekitongole ky’amaggye ekizimbi kyekigenda okukola omulimu guno, okusuumusa amasomero g’emikono 12 okuli Bukalasa, Lira, Elgon, Bushenyi, nokuzimba amasomero ga secondary amalala 60.
Abayizi 5,192 aba degree naba diploma 1,125 bebagenda okuwolebwa ensimbi okubasobozesa okumalako emisomo.
Mu mbeera yeemu,government egenda kweddiza University y’e Bunyoro ne Busoga mu mwaka oguggya 2024/2025.
Ensonga z’ekikula kyabantu; zitetereddwaamu obuwumbi bwa shs 355 nga mwemuli ezigenda okuyamba abakadde abaweza emyaka 80 egy’obukulu mu nteekateeka emanyiddwanga Social Assistance grant for Empowerment.
Obutonde bw’ensi; Obuwumbi 516 bugenze mu by’aamazzi nobutonde bwensi omuli ezigenda okumalirirza omulimu gwokuddabiriza irrigation schemes, okuzaawo entobazi ezisaanyiziddwaawo n’ebibira, saako okulamba entobazi mu bitundu okuli Kibimba, Ssezzibwa, Mayanja, Muzizi, Mpologoma nebirala.
Government yakugaba endokwa z’emiti obukadde bwa shs 15 saako okuzimba ebifo ebifukirira ebikozesa amasanyalaze g’enjuba 52, mu bitundu okuli Yumbe, Amudat, Bulambuli, Buyende, Mubende, Lyantonde, Ssembabule, Kassaanda n’ebirala.
Parish development model; enteekateeka eno eyongeddwamu ensimbi trillion 1 n’obuwumbi 59 nga buli muluka gugenda kufuna obukadde 100.
Omwaka guno 2023/2024 wegwatuukidde, government ebadde yakateeka trillion 2 n’obuwumbi 400 mu nteekateeka ya parish development model okuva lweyatongozebwa mu mwaka 2022/2023.
Emyooga; gyongeddemu obuwumbi bwa shs100.
Obuwumbi 55 government ebwongedde mu bank ya Uganda development bank.
Ensimbi zino zakusobozesa bannansi okwewola ensimbi ezitaliiko amagoba mangi, okutondawo emirimu n’okuggya bannansi mu bwavu.
Eby’obulimi; okwongera omutindo ku birimiddwa, government ebitaddeko trillion 1 n’obuwumbi 878, nga muno mulimu obuwumbi 427 zakugula eddagala obukadde 44 eza ddoozi zeddagala erigema ekirwadde kya kalusu mu bisolo okuli ente, embuzi, endiga n’ebirala.
Eby’obulambuzi; biteekeddwamu obuwumbi 289. Mulimu obuwumbi 55 eziweereddwa ebitebe bya Uganda mu mawanga amalala, okuyambako ekitongole ki Uganda Tourism Board okutumbula ebyobulambuzi bya Uganda mu nsi endala okusikiriza abalambuzi.
Obuyiiya, tekinologiya ne science; Muteekeddwamu obuwumbi bwa shs 32 obugenze mu kampuni ya Kira motors okukola emmotoka, obuwumbi 50 bugenze mu kitongole ki Presidential initiative on Banana Industrial development PIBID okwongera omutindo ku matooke, saako obuwumbi 75 obutereddwa mu nsawo eno eya science ne tekinologiya okwongera omutindo ku mmwaanyi nokuyigiriza bannansi okunywa kaawa akoleddwa mu mMwaanyi.
Ebyobugagga eby’ensibo, amasanyalaze namafuta bitereddwaamu obuwumbi 920, nga kuliko obuwumbi 41 obugenda mukukulakulanya ebyobugagga ebyomuttaka nebirala
Ebyentambula; bissiddwamu shs trillion 4 n’obuwumbi 989. Obuwuumbi 162 bwakumaliriza ekisaawe kyennyonyi ki Kabalega International Airport, okuzimba oluguudo lwa Masaka okutuuka e Mutukula kilometer 89, okuzimba entindo 30 mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu, n’enguudo eziwerako.
Ebibamba n’ebigwa bitalaze; Obuwumbi bwa shs 146 zeziteereddwa mu mbalirira eno.
Minister webyensimbi Matia Kasaija amenyemenye emisolo egigenda okuvaamu ensimbi ezigenda okuwanirira embalirira eno, okuli omusolo ogwayongezeddwa ku mafuta, cement, amazzi ga mineral water, omwenge n’ebirala.
Mu mbeera yeemu, minister Kasaija agumiza eggwanga nti newankubadde ebbanja lya Uganda likuze, terinasajjuka, era government ekyasobola okulisasula olw’ensonga nti ensimbi zisigiddwa bulungi mu bintu ebizza amagoba eri eggwanga.
Gavument erangiridde nti mu mwaka gw’ebyensimbi guno 2023/2024, yalemereddwa okukungaanya omusolo gwa trillion 1 n’obuwumbi 900.
Minister agambye nti mu mwaka 2023/2024 government yali eteeseteese okukungaanya omusolo gwa trillion 29 n’obuwumbi 672, wabula yasobodde kukungaanyako omusolo gwa trillion 27 n’obuwumbi 725.
Minister Kasaija agambye nti ekitongole ki Uganda revenue Authority ekiwooza kyomusolo, kikola buli ekisoboka okulaba nti kiziba emiwaatwa egiviirako omusolo okweveera.
Mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/2025 oguggya, URA esuubirwa okukungaanya omusolo gwa trillion 31 n’obuwumbi 982.
Ebyenfuna by’eggwanga Minister Kasaija wabula agambye nti bikuze era bikyakula newankubadde wabaddewo ebisoomooza, naagamba nti mu mwaka gw’ebyensimbi oguggya 2024/2025 ebyenfuna by’eggwanga byakukulira wakati webitundu 6.4% ne 7%.
Minister Kasaija agambye nti ebyenfuna byeggwanga nebyobugagga byayo byonna omwaka gw’ebyensimbi oguggya 2024/2025 byakweyongera okukula era esuubira nti byakukula okutuuka ku trillion 225 n’obuwumbi 500 okuva ku trillion 180 webiri mu kiseera kino.
Minister Kasaija agambye nti Uganda esenvudde mu byokusikiriza ba musiga nsimbi era mu mwaka 2022, Uganda yalangirirwa nti yesinga okusikiriza bamusiga nsimbi okusinziira ku alipoota ya Annual investment report 2022.