Abatuuze ku kyalo Bugembe mu muluka gw’e Lubongo mu gombolola y’eNgogwe mu district ey’eBuikwe mu kiro ekikeseza leero nga 11 June,2024 beekozeemu omulimu ne bazingiza ababbi ba waya ez’amasanyalaze ne babaligita emigoba nte n’emmotoka gye babaddemu nebagyiteekera omuliro nesirikka.
Abatuuze beekolamu omulimu ne bateekawo abakuuma ekyalo oluvannyuma lw’obubbi obwa waya ez’amasanyalaze okulinnya enkandaggo mu kitundu ekyo.
Abatuuze bagamba nti zaabadde ssaawa nga munaana matumbi ne balaba emmotoka ekika ekya Subaru Forester namba UAY 205T ng’eyimirira mu kitundu kyabwe, abaagibaddemu nebagisiimba mu kasiko, olwo nemuvaamu abantu basatu nebalinnya ebikondo by’amasanyalaze mu bwangu, era ne batandika okusala waya kwekukubira banabwe essimu ne babazingiza.
Baakutte ababbi bano kyokka mukwenyoola nabo baabasinzizza amaanyi ne badduka kyokka emmotoka ne bagyireka.
Sipiika ow’egombolola y’eNgogwe era nga yakiikirira omuluka ogwo ,Ssekitoleko Henry agamba nti bazze bafuna obuzibu obwo nga ne gyebuvuddeko waliwo be batwaala mu kkooti ku nsonga yeemu kyoka ne beeyimirirwa.
Ssekitooleko agamba nti ekisinze okubakuba encukwe kwekuba nga omu kubaabadde bazze okuddamu okusala waya, baali baamukwatako nebamutwala ku police naayimbulwa.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis