Giweze emyaka 30 bukyanga Omukama wa Bunyoro Rukirabasaija Agutamba Dr. Solomon Gafabusa Iguru atuuzibwa ku Ntebbe ya bajjajjabe okufuga Bunyoro.
Emikolo gy’Empango gitegekeddwa mu Kikaali kye Karuziika, mu Buganda ekimanyiddwa nga Olubiri.
Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okukikkaatiriza nti bwakukolagana n’Obukama bwa Bunyoro, okukyuusa embeera y’ebyenfuna, Ebyobulamu, ebyenjigiriza wamu n’Okunyweeza Ennono n’Obuwangwa.
Minister w’Ensonga z’ebweeru wa Bunyoro Owekitinisa Phillip Katahoire Atwooki, ategeezezza nti Obukama mu myaka 30, buliko webutuuse mu nkulaakulana, enkolagana wakati waabwo n’Obwakabaka bwa Buganda eyongedde okunyweera, era nga waliwo ebitukiddwako ebirabwako.
Owekitinisa Phillip Katahoire agambye nti Obukama okubaamu ekyobugagga ky’Amafuta kibuyambye okugundiira mu Uganda, naasaba Obwenkanya mu ngabanya y’Ebyobugagga by’eggwanga eyongere okwekenneenyezebwa n’Obwerufu.
Mungeri yeemu Owekitinisa Katahoire agamba nti enkolagana y’Obukama n’Obwakabaka esobozesezza abantu b’Omukama okutandika Okuteeka amaanyi mu kirime ky’Emwaanyi,ekiwadde abantu essuubi eryokukulaakulana.
Obwakabaka bwa Buganda ku mukolo guno bukiikiriddwa omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule ne minister w’Amawulire, Okukunga abantu era omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke.
Bisakiddwa: Kato Denis