President Yoweri Museveni akangudde ku ddoboozi nálabula abaazirwanako mu lutalo lwékiyeekera olwaleeta NRM mu buyinza, nti bakomye okwekubagiza olutatadde nókusuubirizanga mu kuwebwa obuwebwa buli kintu, wabula bakozese enkola za gavumenti zeyabateekerawo okwekulakulanya.
President Museveni agambye nti NRM mu kujja mu buyinza ebigendererwa byayo mwalimu okukulaakulanya Bannayuganda ngébafunira emirimu, okutumbula ebyamakolero, okunoonyeza ebyámaguzi obutale, okusitula ebyobulambuzi, ebyobulimi, okulwanyisa enguzi nookuteekawo enkola ya demokulasiya ow’ekimmemmette, era nti ye taseseetukangako okuva ku nnono ezo, negyebuli eno awo essira weyaliteeka.
Mwami Museveni asinzidde ku mikolo egyókukuza olunaku lw’abazira egiyindidde mu gombolola y’e Mpenja mu district ye Gomba, gyátegeerezza nti bwakubamu ttooci alaba nti government ye etambulidde ddala bulungi nnyo, kwekusaba abazirwanako okukozesa enkola ya parish development model okwekulakulanya, bave mu kusinda obwavu buli lukya.
President Museveni ng’abadde bumu nómumyuka wa Ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Suubi ngávvuunula obubaka bwe, agambye nti government ye eriko enkola nnyingi z’eteereddewo abantu okwekulakulanya, era basaanye berwaneko era bekulaakanye.
Museveni agambye nti ye teyali mujulizi mu kununula eggwanga, wabula ye ne banne bajja kulwanyisa nkola mbi eyaliwo, olwo nno nebafuuka abazira.
Minister avunanyizibwa ku nsonga z’obwa president Milly Babalanda, asiimye nnyo mukamaawe mwami Museveni olwóbugunjufu némpisa zaatadde mu bitongole byonna ebikuumaddembe.
Ku mukolo guno, minister w’ebyettaka nenkulakulana yebibuga, Judith Nabakooba, asinzidde wano naalungamya ku nsonga zettaka ezikyagulumbya banna Uganda emitwe era aliko abasenze bakwasizza ebyaapa ababadde bagobaganyizibwa ku ttaka.mu bitundu bye Gomba ebyenjawulo.
Minister avunanyizibwa ku nsonga z’akanyigo ke Luweero nénsonga zábazirwanako Alice Kaboyo, agambye nti mu mwaka gwébyensimbi guno 2023/2024, ba kaawonawo abasoba mu 300 be baakawebwa akasiimo kabwe, kyoka n’awanjagira government okwongera amaanyi mu kulwanyisa obwavu obumaamidde ebitundu ebyenjawulo.
Hajji Ediriisa Sseddunga, ssentebe waabazirwanako mu bubaka obumusomeddwa memba woolukiiko lwekibiina kyabalwanyi, Kiggundu Kabandwa, avumiridde ettemu, okusiiwuuka empisa mu basirikale, nénguzi ekudde ejjembe ensangi zino, kwe kusaba omukulembeze wéggwanga aleme kukyogerako bwogezi wabula aveeyo bukukuubira alwanyise nnamujinga ono.
Ku mikolo gino gye gimu abantu 49 baweereddwa emidaali ng’abazira ba Uganda, omuli nr minister omubeezi ow’amawulire ne technology Owek. Joyce Juliet Ssebugwawo.
Omudaali Owek. Ssebugwawo gwafunye gwegumu kwegyo egiweebwa bannabyabufuzi oba abantu ba bulijjo abakoze ebintu eby’enjawulo okukira ku balala naddala ebikulakulanya eggwanga Uganda.#