Abamu ku bakulembeze mu Kibuga Kampala banirizza enteekateeka eyanjuddwa Loodi Meeya Elias Lukwago okuddabiriza n’okuzimba ebitebe by’e ggommbolola ezenjawulo ezikola ekibuga mu mwaka gwebyensimbi ogujja 2024/2025.
Loodi Meeya wa Kampala Ssalongo Elias Lukwago yabadde ku City Hall
KCCA ng’ayanjula ebigenda okutekebwako essira, yategezeezza nti bakudaabiriza wofiisi za Lood Meeya ku City Hall , okuddamu okuzimba ekitebe kye ggombolola e Kawempe , okuzimba ekitebbe ky’eggombolola ye Nakawa n’e ggombola ya Kampala Central.
Lukwago yategeeza nti ebizimbe omukolebwa emirimu bikaddiye ebitagambika nga n’egombolola ezitalina bitebe bitukaanye namutindo ekiseera kituuse zifune ebizimbe eby’omulembe okwanguya emirimu mu kibuga n’okutuusa obuweereza ku banaKampala.
Agamba nti ebitebe by’egomboloka bikaddiye nga n’ebimu tebikyayinza kutuuza muwendo gw’abantu bawera, songa abantu abakolera emirimu ku bitebe bino beyongera buli lukya.
Mayor we Gombolola Kawempe Dr . Emmanuel Sserunjogi Oweddembe ategezezza nti amagombolola getaagira ddala okuzzibwa obuggya gatuukane n’omulembe gw’ekibuga, omuli okutereeza wofiisi z’abakulembeeze ,enguudo, n’ebirala nti kubanaga bana Kampala bawa omusolo mungi nga batekeddwa okuguganyulwamu
Sipiika w’olukiiko lwe ggombolola ye Nakawa Godfrey Luyombya Kabali ategezeeza nti bafuna okusomosebwa olw’obutabeera nabizimbe ekikalubya emirimu mingi, omuli n’okutuuza enkiiko za ba kansala mu woteeri zebasasulira ensimbi empitirivu.
Luyombya asabye abakulu ekyokubazimbira ekitebe kireme kukoma mu bigambo wabula kiiteekebwe mu nkola.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius